Bya Ivan Ssenabulya
Abekibiina kya Democratic Party bategezeza nti waliwo obwetaavu okuba ne nteseganya ku nsonga yebyokwerinda mu bakwatibwako.
Bino webijidde nga bann-Uganda bali mu kutya olwe ttemu, ngekyasembyeyo kwekutemulwa kwabadde omubaka wa minispaali ye Arua Ibrahim Abiriga.
Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe mu Kampala, president wekibiina Nobert Moa agambye nti waliwo obwetaavu okuteesa okutuuka ku kukanyanekigwana okukolebwa, mu bakulembeze nabalala bonna abakwatibwako ensonga yebyokwerinda.
Ono era agambye nti waliwo obwetaavu ebitongole byebyokwerinda okwezanga obugya.
Ate President wa DP Nobert Mao awakanyizza ekyaboludda oluvuganya gavumenti okubeera emabega wokutta eyali omubaka Ibrahim Abiriga.
Bweyabadde ayogerera mu kuziika omugenzi Abiriga olunnaku lwe ggulo, omukulembeze we gwanga nabakulembeze mu NRM abalala balumirizza aboludda oluvuganya gavumenti nti bandina nga bebali emabega wobutemu buno.
Wabula Moa agambye nti ebigambo ngebyo tebiriiko bukakafu era nasaba abantu okubeera abakakamu okutuusa nga poliisi emaze okunonyererza okuzuula ekituufu.
Era agambye nti kikyamu okufa kwa Abiriga okukuyunga ku byaliwo ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.