Amawulire

Abavubuka ba Museveni- Babaka

Ali Mivule

June 4th, 2014

No comments

Museveni  addresses villagers

Abavubuka mu kibiina kya NRM okuva mu bitundu ebitali bimu basazeewo okuwagira ekya pulezidenti Museveni okwesimbawo yekka nga tavuganyiziddwa mu mwaka 2016.

Ababaka b’abavubuka nga bakulembeddwaamu Peter Ogwang ne Everylne Anite ababadde banyonyola ku wa webatuuse n’ekiteeso kyaabwe

Ababaka bano era bawakanyizza ebigambibwa nti abatawagira kiteeso kino batulugunyizibwa mu kibiina.

Wabaddewo okusika omuguwa mu kibiina kya NRM bukyanga ababaka mu palamenti basalawo nti pulezidenti Museveni yesimbewo yekka mu kibiina nga tavuganyiziddwa