Skip to content Skip to footer

Lukwago azizza omuliro

Bya Shamim Nateebwa

Loodi meeya wa kampala  Erias Lukwago aweze okusimbira ekkuuli ebbago ly’etteeka erireetebwa okunafuya ekifo kya loodi meeya.

Ebbago lino lyayanjuddwa eri palamenti nga era ssinga liyisibwa olwo minisita wa Kampala y’aba akulira oludda lwabannabyabufuzi ekisala ku buyinza bw’omuloodi.

Wabula Lukwago ategezezza nti agenda kukozesa ennaku zino 45 ez’okwetegereza ebbago ly’etteeka lino okukunga bannakampala bamwegatteko nga era nemukkooti wakutuuka.

Wano w’asabidde abantu bonna okumuwagira kubanga eno nsonga ekwata ku buli Muntu yenna etasaanye kusulibwa muguluka.

Leave a comment

0.0/5