Amawulire

Emirambo emirala 2 ginyuluddwa

Ali Mivule

June 9th, 2014

No comments

Boat race

Poliisi y’okumazzi eriko emirambo ebiri gyenyuludde okuva mu Nyanja Nalubaale.

Bano beebamu kw’abo abidde bwebabadde ku lyaato nga bava ku bizinga bye Kiziru okudda e Bulago.

Abantu 32 kigambibwa okuba nti beebabadde ku lyaato kyokka nga basobodde okunyululayo emirambo 28 olunaku lwajjo.

Aduumira poliisi y’oku mazzi James Pola atugambye nti emirambo gyebanyuludde emirala guliko ogw’omukulu n’omwana omuto nga kati wasigaddeyo abantu babiri

Omuyiggo gukyagenda mu maaso okuyigga emirambo egisigalidde

Akabenje kano kigambibwa okuba nga kavudde ku kutikka kabindo n’embeera y’obudde embi ku mazzi.