Amawulire
NRM egenda mu kooti
Ab’ekibiina kya NRM bagenda mu mbuga z’amateeka ku babaka abagobwa u kibiina
Bano balemeddeko nga bagaala ababaka bano bagobwe mu palamenti
Akulira akakiiko akalondesa mu NRM, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti ebyasaliddwaawo spiika bimenya amateeka n’okuvvoola okusalawo kw’abantu
Rugunda era agamba nti yeewunyizza nnyo okulaba nti Kadaga amyuka ssentebe w’ekibiina mu Buvanjuba yennyini yefuula ate nga adda ku ludda lw’ababaka