Amawulire
Abakola ku NAADs bagobwe- Museveni
Ababadde bakwataganya emirimu wansi w’enkola ya NAADS bonna bakugobwa
Kino kyogeddwa pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’olunaku lw’abazira e Mityana
Pulezidenti agambye nti ensimbi ezirina okuzimba abalimi bano zibadde zigweera mu kusasula abakwanaganya bano kko n’enkungaana ezitaggwa
Kino kizze nga pulezidenti yoomu ono yakalangirira ng’enkola ya NAADs bw’egenda okugyibwaawo kubanga teyambye kujja bantu mu bwavu.
Museveni agambye nti kati gavumenti egenda kukolagana butereevu na balimi ate bbo bannamaggye abazirwanako bakole ku gw’okusomesa abantu ku nnima ey’omulembe
Pulezidenti bw’atuuse ku by’okusoma kwa bonna basome agambye nti afunye amawulire ga njawulo ku nteekateeka eno kyokka nga n’ategeeza nga bweguli omulimu gwa buli omu okulaba nti enkola eno evaamu ebibala okuli n’abazadde.
Ku mikolo gini abazirwanako gyebalangiridde nga bwebawagira ekiteeso ky’ababaka mu palamenti ekya pulezidenti Museveni okwesimbawo mu kibiina nga tavuganyiziddwa
Akulira abazirwanako bano Edirisa Sseddunga ategeezezza nti pulezidenti Museveni aleese emirembe mu ggwanga nga n’ebyenjigiriza kko n’ebyobulamu abitumbudde kale nga tewali amukira.
Bbo abantu abasoba mu 300 beebawereddwa emidaali gy’obuzira olwaleero