Amawulire

Ababaka beekandazze

Ali Mivule

June 11th, 2014

No comments

sewungu 2

Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’enjigiriza beekandazze nebafuluma olukiiko olubadde lutegekeddwa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eziruma abaana

Kiddiridde minisita akola ku byenjigiriza ebisookerwaako Kamanda Bataringaya okugaana okuwuliriza okusaba kwaabwe nti asigalewo awulire okuva mu bekikwatako bonna kiki ekivuddeko obuzibu

Ng’amaze okuggulawo olukiiko olubadde ku Hotel Africana, minista agambye nti abadde tasobola kusigala kubanga abadde alina olukiiko lwa baminista.

Kino kijje ababaka mu mbeera nabo nebafuluma nga bagamba nti tebasobola kuteesa ku nsonga nkulu ng’abazikolako tebaliiwo.

Olukiiko luno lubadde lutegekeddwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abaana ebitali bimu okuli ANNPCAN.

 

 

WE spoke to one of the MPs Joseph Ssewungu.