Ebyobusuubuzi
Abakozesa amasimu bakooye okubbibwa
Abakozesa amasimu baddukidde mu kooti enkulu olw’amakampuni agatabaweereza bulungi.
Bakulembeddwaamu Abel Balemesa nga bagamba nti kkampuni z’amasimu ziyitirizza obubbi nga zisala n’ensimbi ku bubaka obutasindikiddwa
Bano bagamba nti mu ngeri yeemu n’amasimu agakutuka gajjibwaako ensimbi ekintu ekikyaamu
Bano bawaabiddeko n’akakiiko akakola ku by’empuliziganya nga kko bakalanga kusirika ng aba kasitoma babbibwa
Bagaala kkooti alagire akakiiko kano kalonde kkampuni ey’etongodde okulondoola emirimu gya kkampuni z’amasimu okulaba nti abantu tebabbibwa