Amawulire
Minisita Kuteesa akomyeewo nga muzira
Minista akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akomyeewo ku butaka ng’ayaniriziddwa ng’omuzira
Kuteesa gyebuvuddeko yalondebwa okukulembera olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte era nga kino wakukikola okumala omwaka mulamba
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Kuteesa agambye nti mwetegefu okukolagana na buli omu mu kibiina ky’amawanga amagatte okutumbula eddoboozi ly’omuddugavu
Kuteesa agambye nti essira wakulissa ku nsonga z’abakyala n’ez’embeera y’obudde ekyuukakyuuka .