Amawulire
Abatujju bakyuusizza enkola-Bakuba masasi mu bantu
Poliisi erabudde abantu nti kati abatujju bazze na nkola mpya naddala mu bulumbaganyi bwebakola ku mawanga ga East Africa
Kiddiridde obutujju obulala ku nsalo ya Kenya okuleka abantu abasoba 40 nga bafudde
Ab’obuyinza mu Kenya agamba anti kati abatujju bano bakozesa mmundu nga beefudde ng’abakuuma ddembe olwo nebatta nga bwebagaala
Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti abantu nabo basaanye okukyuusa enkola nga begendereza abantu ababa bakutte emmundu
Wabula Namaye agamba nti abasirikale baabwe bamaze okubasomesa ku batujju bano.