Amawulire

Bano tebasaaga- Beekalakaasizza n’embizzi

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

pigs at parlaiment

Poliisi ekutte abavubuka babiri ababadde beekalakaasiza ku palamenti n’embizzi.

Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise ng’ono muyizi ku ttendekero lya IUIU bakubye poliisi akawunike nebayingira mu luggya lwa palamenti n’embizzi zino nga kw’otadde n’ebiwandiiko ebivumirira enguzi eri mu babaka mu palamenti.

Obubizzi buno babadde babusiize langi eya Kyenvu nga babusibye ebipappula mu bulago ebivumiririra ababaka abalya enguzi.

Abakulu bano era babadde bambadde bumunywa ntuuyo obuliko ebigambo ebiraga nti tebalina mirimu kyokka nga tebajja kusirika yadde bafubye okubanyigiriza.

Wabula abavubuka bano bakwatiddwa poliisi nga tebanayogerako na bannamawulire.

Kino tekisoose kubeera mu Uganda nga ne mu Kenya era waliwo abavubuka abaakikola nga bavumirira enguzi.