Amawulire
Abaana bangi basobezebwaako
Okusobya ku baana kyekika ky’okutyoboola eddembe ly’abakazi okwekuusa ku kikula kyaabwe okwakasinga okulabikako
Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya bakyala ekya ACFODE ng’eraga nti emisango egisoba mu kikumi gyegyawaabwa.
Kuno kuddibwaako okukaka abakyala omukwano n’okutyoboola mu ngeri enafuya omukyala
Amasekkati ga Uganda geegasingamu ebikolwa bino ne kuddako obuvanjuba , obugwanjuba b’obukiikakkono nebugoberera
Ebikungaanyiziddwa bisinzidde ku bizze bifulumira mawulire ku ddembe ly’abakyala n’engeri gyebatyobolwaamu
Dr Florence Muhanguzi okuva mu ACFODE agamba nti okussa mu nkola amateeka agakaliga abatyoboola abakyala kukyaaliko akabuuza era nga kwekuvuddeko ebizibu