Amawulire

Poliisi etubidde ne piki

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Over loaded bike

Poliisi wano mu Kampala ekyatubidde ne zi bodaboda eziwera nga bananyini zo bakwatibwa batisse omuntu asukka mw’omu.

Omwaka guno poliisi yateekawo amateeka g’okukwata boda ezitikka omuntu asukka mw’omu era nga ebikwekweto birese pikipiki nyingi ziyooleddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba kati zino bakuzitundibwa ku nyondo keebanafuna ekiragiro kya kkooti.

Agamba bananyini pikipiki zino baasussa dda mu myezi omukaaga kwebalina okuziddukira  nga kati bawereddwa wiiki 2 zokka okuzikima.