
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alagidde gavumenti okuwaayo mangu obuwumbi 18 eri okuddabiriza ekiggwa ky’abajulizi nga eggwanga lyetegekera okukyala kwa papa omwezi ogujja.
Kino kiddiridde abakugu abavudde e Vatican okutegeeza nga omulimu bwegwabadde gutambula akasobo olw’ensimbi entono.
Kino kyawaliriza pulezidenti Museveni okugenda okulambula emirimu nga 3 October 2015 n’akizuula nti ddala buli kimu kitambula mpola.
Omwogezi wa pulezidenti Lindah Nabusayi, ategezezza nga pulezidenti bweyalagira ensimbi ziweebwe buterevu kampuni enzimbi eya Roko bakole bulungi emirimu awatali kwekwasa.
Wabula omwogezi wa minisitule y’ebyensimbi Jim Mugunga agamba ensimbi zino bakuziyisa mu minisitule ezikwatibwako kubanga kampuni ya Roko ya bwananayini nga kizibu okugibuuza ensasanya.