Banka y’eggwanga enkulu yedizza emirimu gya banka ya Imperial Bank Uganda Ltd okuva kati.
Kino kiddiridde banka ya Kenya enkulu okwediza ettabi lya banka eno ekkulu mu Kenya okumala omwaka mulamba lwamirimu butatambula bulungi .
Ssenkulu wa banka enkulu eyakuno Tumusiime Mutebile ategezezza nga bwebatagadde banka eno okulaba nga bannayuganda tebafiirwa nsimbi zaabwe .
Tumisiime ategezezza nga banka eno bw’egenda okusigala nga nzigule nga bwebagenda mu maaso n’okwetegereza ebyenfuna bya banka eno nga kati etubidde n’ebbanja lyabuwumbi bwa silingi 2.
Banka eno yatandikibwawo mui mwaka gwa 1992 nga era erina amatabi wano mu Uganda nga abagikulira bali Kenya.