Skip to content Skip to footer

Abalwadde ba mukenenya e Gomba tebalina ddagala

Bya Sadat Mbogo

Abalwadde ba mukenenya n’omusujja gw’ensiri mu malwaliro okuli Mamba Health Center III ne Ngomanene Health Center III mu district ey’e Gomba bakubye omulanga olwe ddagala lyebetaaga outabweebwa.

Okusinziira ku Ssentebbe wa district ye Gomba Godfrey Kiviiri, baafunye alipoota okuva mu balwadde nti eddagala eribayamba ku kuweweeza mukenenya n’omusujja kati myezi ebiri nga tebalifuna.

Agamba kati abamu batandise okuddukirako mu district eziriranye Gomba okuyambibwa.

Asabye gavumenti nekitongole kyebyobulamu okubaddukirira.

Leave a comment

0.0/5