Bya Ritah Kemigisa
Akulira ekitongole kya Center for Constitutional Governance Sarah Bireete awabudde nti wasaana wabeewo okubangula, abakuuma ddembe okwekikungo kungeri gyebatekeddwamu okukola emirimu gyabwe.
Agamba nti batekeddwa okubasomesa kungeri yokukumamu edembe lyobuntu.
Okusinziira ku Bireete abamu ku bakuuma ddembe, abatulugunya abantu, tebakimanyi nti okutulugunya musango noguvaako nokuvunanwa.
Bino webijidde ngamagye ge gwanga nekitongole kya poliisi, bali mu kattu nga babalumiriza okutulugunya abantu.