Amawulire
Omwanguye amasiro- Katikkiro
Katikiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku masiro gaba ssekabaka e Kasubi n’akubiriza Kampuni ekola omulimo gw’okuzimba amasiro gano okugwanguya ku mirimu gisobole okugweera mu budde.
Kino kiddiridde Nalinya w’amasiro gano Namikka okuvaayo neyemulugunya ku ngeri y’akasoobo emirimu gyegibadde gitambulamu.
Katikiro ategezezza nga obuganda bwebulina ebintu ebirala eby’okukolako gamba ng’okuddabiriza amasiro ge Nabweru n’ebirala.
Kinajjukirwa nti Kampuni enzimbi eya Omega constructions yeddukanya omulimo guno.