Amawulire
Obutujju- amaggye ne poliisi bakufuukuzza ekibuga
Kyaddaaki ekikwekweto ky’ebyokwerinda ekikoleddwa amagye n’apoliisi okwetolola ekibuga Kampala kikomekerezeddwa.
Ebyasoose byalaze nga bwekikoleddwa olw’abatujju abaatisizza okulumba ekibuga ,ate okuvaako mu nsonda z’amagye netukitegera nti kuno kubadde kukebera kwabulijjo okwongera okunyweza eby’okwerinda mu kibuga.
Amagye ne poliisi erwanyisa obutujju bakedde kufuuza kumpi mu buli kizimbe nga abasinga bwebatunula okulaba ekigenda maaso.
Nga basimbye enyiriri basokedde ku Namirembe Road , nebadda ku kizimbe kya, Qualicel bus terminal, baabo mu paaka ya baasi eyomu kisenyi, Arua park, n’ebizimbe ebirala okutuuka ku kibangirizi kya KCCA.
N’okutuusa kati mpawo kitongole kyaby’ebyokwerinda kyavuddewo mu butongole okutegeza kiki ekibadde ekigendererwa ky’ekikwekweto kino.
Bbo abantu abenjawulo basanyukidde enkola eno.