Bya Ben Jumbe.
Ekitebe ky’e gwanga lya America kiriko obubaka obulabula bwekiwereza eri banansi ba America abali mu Uganda nga babalabula kubutali butebenkevu obuli mu gwanga.
Bano okuvaayo kidiridde okwekalakaasa okulabikako mu bitundu bwegwanga ebitali bimu nadala wano mu kampala.
Mukiwandiiko kyebawerezza, bano baganba nti okwekalakaasa okugenda mu maaso kwabulabe kubanga kulina akakwate ku by’obufuzi.
Kati bano balabudde abantu baabwe okwekengera embeere ez’akavuyo eziyinza okubaviiramu emitawaana