Ebyobulamu
Ebola atabuse mwegendereze – Gavumenti
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eyisizza okulabula abantu ku kirwadde kya Ebola ekyakatta omusawo munnayuganda.
Dr. Samuel Muhumuza yafudde obulwadde buno obwamukutte ng’akola ku balwadde mu ggwanga lya Liberia
Obulwadde buno bwakatta abantu 400 ate abasoba mu 700 babulina nga bali mu mawanga ga West Africa
Minisita w’ebyobulamu Dr. Rukahana Rugunda agamba nti yadde obulwadde buno tebunnatuuka mu Uganda, waliwo okutya nti ssinga tewali kyamaanyi kikolebwa, embeera yandituuka ne wano.
Dr.Rugunda agamba nti baweerezza ekibinja ky’abakugu mu kibuga Ghana okulaba engeri obulwadde buno ggyebuyinza okulwanyisibwaamu okwewala okubuna
Obulwadde buno tebulina ddagala era nga gwebukwatako , bamulabirira okutuuka lw’afa