Amawulire
Bbomu ku palamenti mu Somalia
Okubwatuuka okw’amaanyi wamu n’amasasi biwuliddwaako okumpi ne palamenti y’eggwanga lya Somalia ng’ababaka bagenda mu maaso n’okuteseeza eggwanga.
Amawulire agavaayo goleka nga bwewaliwo abantu abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno, obuteberezebwa okuba nga bukoleddwa oluvanyuma lwa bbomu etegeddwa mu motoka.
Gyebuvuddeko banalukalala ba al-Shabab 10 beebafira mu bulumbaganyi obwakolebwa ku palamenti emyezi mukaaga emabega.
Obulumbaganyi buno buzze nga wakayitta wiiki emu ng’omubaka wa palamenti ow’amaanyi Ahmed Mohamud akubiddwa amasasi agamuttirawo.