Amawulire
Abafude bawezze 61 e kaseese
Webuwungeeredde nga agavva e kaseese gooleka nga omuwendo gwabalumbaganyi abatidwa nga bagezaako okulumba gulinye, nga kakano gutuuse ku bantu 52 okuvva ku 42 webwakeeredde.
Ayogerera amagye ga UPDF mukitundu kino Lt Nishima Rwemizhuma atubuulide nti nakati omuyiggo gwabo abeenyigidde mu kikolwa ky’okutta banansi 9 gukyagenda mu maaso
Abatidwa kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne Corporal Tibimanya Grace nga kwogasse n’ab’omunjuuye basatu nga bano bateekedwa muliro , songa era ku kyalo ky’ekimu kuliko n’abntu abalala basatu abatidwa.
E Bundibugyo, nayo abatujju batuuseyo nebatta abaserikale babiri ku police okuli abade akulira police eyo Mugume Bataka Wilson ne Police Constable Aliga Swaibu.
Agaasose okuvaayo gaalaze nga abatemu bano bwebabade nakakwate ku businga bwa Rwenzururu,wabula amangu dala obusinga nebutangaaza ku nsonga eno.
Noah Nzaghale, nga ono yye Katikiro w’obusinga, atubuulidde nti obusinga tebulina magye, kale nga ekyokuteeka obulumbaganyi buno ku Businga sikituufu, okugyako okutondawo enjawukana .