Amawulire
Obunkenke e Bundibuggyo
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kayihura wakusigala nga agumbye mu bugwanjuba bw’eggwanga oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakoleddwa abatamanya ngamba mu bitundu bye Bundibugyo.
Olunaku lw’eggulo Kayihura yatuuse mu kitundu kino mu nsisinkano n’abakulira eby’okwerinda nga era amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba ssenkaggale wakugumba mu bitundu bino ebbanga lyekinamala nga kyetagisa
Ggo amaggye gagamba nti abantu abasoba mu 60 beebakafa okuli 9 abattiddwa abalumbaganyi nga n’abalumbaganyi bano battiddwamu 52.
Namaye agamba amagye ne poliisi bakolera wamu okusobola okuzuula ekyavuddeko obulumbaganyi buno.
Ku lwomukaaga abatamanya ngamba bano baalumbye disitulikiti 3 okuli Bundibigyo, Ntoroko ne Kasese nebatta abantu 3 okwabadde n’abasirikale ba poliisi.
Amaggye gesasuzza nakutta ku balumbaganyi bano 52 abaabadde baagala okulumba enkambi s y’amaggye ge Bundibugyo.
Namaye agamba ssabapoliisi wakuyamba ku kunonyereza okugenda maaso ku bulumbaganyi buno.
Ebyo bibadde bikyali bityo , ye ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda Benny Namugwanya n’ateeka gavumenti ku ninga eveeyo ne alipoota ku kitta bantu ekikyase mu bugwanjuba bw’eggwanga .