Bya Magembe Ssabiiti
Abasuubuzi b’ente abakolera e mubende basattira oluvanyuma lw’okuggala obutale obubadde bugulwamu ente obuwerera ddala mukaaga nga entabwe evudde ku bulwadde bwa kalusu
Obutale obugadwa mulimu akatale ke butologo akasangibwa mu ggombolola ye butologo nga eno abasuubuzi abava e kampala babadde bettanirayo okugulayo ente, akatale ake Nalutuntu , akatale ake kalagala, ak’omukiganda , ak’omukisenyi nake butawatwa nga bono bona tebugenda kuddamu kutunda nte.
Okusinzira ku kiwandiiko ekiteredwako omukono gwa Nakamatte Lilian nga ono yakulira abakozi e mubende ekirwadde kino kyeyongedde okweriisa enkuli mu mubende, ne kakumiro nga mukisera