Skip to content Skip to footer

Maama asse Abalongo be nga Talina Kya’kubaliisa

Bya Edson Kinene-Rukungiri

Police ye Rukungiri eri ku muyiggo ku mukazi, eyakaidde abaana be abalongo nabatta.

Kigambibwa Nyangoma ne Nyakato babadde ba myezi 9.

Sarah Monday owemyaka 28 nga mutuuze we Kagarama mu ggombolola ye Buhunga atebererzebwa okutta abalongo be.

Okusinziira ku Kasoga Sylivia, omuisirikal atwala ensonga zamaka ku poliisi e  Rukungiri ono yasse baana, oluvanyuma lwokubulwa ekyokubaliisa.

Kigambibwa nti kitaawe wabaana bano, abadde yabalekawo emyaka ebiri emabega, nga tebalina kyakulya songa nomusana ppereketya, guviriddeko bangi okuserengeta e zzirakumwa.

Leave a comment

0.0/5