Bya Samuel ssebuliba
Kyadaaki ababaka ba parliament abaakedde ku kitebe ky’abambega ba police wano e kibuli bayimbudwa ku kakalu ka police.
Kinajukirwa nti ababaka babiri okuli Muhammad Nsereko ne Allan Sewanyana basiibye ku police, nga benyonyolako kubigambibwa nti babade bakozesa ebigambo eby’obusagwa nga balwanyisa eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Kati bano bano balagiddwa okudda ku Police ku lwakuna bongere okubitebya.
Bbo ababaka bano bakalambidde nga bagamba nti kulw’okuna sibaakuddda kubanga bakubeera mu parliament.