Skip to content Skip to footer

Bakafulu mukubba motoka bakwatiddwa.

Bya Samuel Ssebuliba.

 

Police wano e Nansana ekutte  abasajja 2 nga bano babade beefude bakafulu mukubba emotoka

Bano okukwatibwa kidiridde okugenda mu maka agamu wano e Lungujja  nebabbayo emotoka eyabedemu akuuma akalondoola aka GPS era kano kekaabakwasizza.

Ayogerera polisi ya kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire,  agamba nti police yalondoodde akuuma kano okukakana nga emotoka eno egisanze mu kikomera e Nansana West 2 Nakule.

Mukwongera okunonya polisi yazudeyo emotoka endala, nga kwogasse n’ebikozesebwa mukubba , kko n’okumenya amayumba.

Leave a comment

0.0/5