Amawulire
Omuliro gukutte ekizimbe kya Avemar
Omuliro gukutte ku kizimbe kya Avemar wano ku street oluvanyuma lwa tulansifooma y’ekizimbe kino okwaabika.
Abasuubuzi bakoze ekisoboka okuzikiza omuliro guno nga bakozesa amazzi okutuusa poliisi enzinya mooto lwetuuse neguzikiza.
Abamu ku bantu abakolera ku kizimbe kino bagamba nti ekitundu ky’kizimbe kyekikutte kyokka nga ssi bingi ebisanyeewo kubanga bakoze buli ekisoboka okugulwanyisa
Amyuka akulira poliisi enzinya mooto Hassan kihanda wano wasabidde abantu okwanguwanga okutegeeza poliisi ku muliro gwonna oguba gukutte .
Ategezezza nga poliisi bwekyagenda maaso n’okunonyereza ku kiviriddeko omuliro guno.