
Akakiiko akalondesa mu ggwanga kakasizza nti abantu abaweza obukadde 15 beebagenda okwetaba mu kalulu ka 2016
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badiru Kiggundu agamba nti bano beebokka abali ku lukalala lw’abalonzi.
Eng Kiggundu agamba nti bamalirizza ku lukalala olugenda okukozesebwa era nga bakuluwanika akadde konna.
Olukalala oluyisiddwaamu lumaze okuweebwa ebibiina by’obufuzi.