
Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo nebutangaaza ku nsonga eyaviiridde ssabasajja kabaka okusisinkana paapa bweyabade agenyiwaddeko wano mu ggwanga.
Bwabade ayogereera ku masiro e Kasubi gyali kaakano, Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agambye Buganda nsaale mu kuleeta eddiini mu Uganda.
Katikkiro agambye nti abamanyi ebyafaayo tebasobola kwawuula Buganda na ddiini ,kale nga tewali nsonga lwaki abantu babuuza ebibuuzo nga bino omutali nsa.
Kinanjukirwa nti abantu bangi babde beebuza lwaki papa yasisisnkanye kabaka, songa aviira dala mulunyiriri lwa mwanga eyatta abajulizi- kati bano Katikiro abaanukudde.
Katikkiro okwogera bino abadde alambula mulimu gw’amasiro wegatuuse bukyanga gatandika okuddizibwaawo emyaka 2 emabega
Katikkiro akkakkanyizza abo abalina okweralikirra nti emirimu gyesibye, nagamba nti buli kimu kikyatambula nga bwekyategekebwa..