
Kkooti ya ssemateeka egobye omusango ogwawaabwa munnakatemba Mulindwa Muwonge ng’awakanya okulondebwa kwa loodimeeya mu Kampala.
Kinajjukirwa nti Mulindwa ono ng’ayita mu bannamateeka aba KM Advocates yaddukira mu kkooti eno ng’ayagala eyimirize akakiiko k’eby’okulonda okusunsulamu abagenda okuvuganya ku bwa loodimeeya.
Ono yali agamba nti okulondebwa kwa meeya kukontana n’akawaayiro k’etteeka lya KCCA namba 6, nga kano kakirambika bulungi nti KCCA erina kuddukanyizibwa ba kansala abalonde, kale nga yye talaba w’agwa
Wabula mu kusala omusango guno , abalamuzi abataano abakulembeddwaamu Steven Kavuma bagambye nti omusango obudde bwaguyitako ate nga tegubadde na mulamwa.
Bano mu ngeri yeemu bagambye nti omusango gwonna teguriimu nsa nga tewali na bantu benyini balayidde kuwagira kwemulugunya kunong’amateeka bwegalagira.