Amawulire
Abakukusa abantu bavunaaniddwa
Abantu basatu abagambibwa okutwala abantu ebweru u bumenyi bw’amateeka bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira
Abasatu bano babadde balimba naddala abawala nti bagenda kubafunira emirimu naye nebabatwala mu kukuba obwa malaaya
Ruth Kayaga owe Namasuba avunaaniddwa wamu ne Joseph Wamala ng’ono y’akulira kkampuni emanyiddwa nga United Citizen Child Support Organization Uganda ng’eno gy’akozesa okukusa abantu
Bano babadde wamu ne Ben Muyanga nanyini kkampuni eno
Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Lilian Buchana obwa kkooti ya Buganda Road era nebategeezebwa nti okunonyereza kuwedde ng’omusnago gusobola okuwulirwa
Bano nno beebatwala Juliana Mbabazi okukuba obwa malaaya mu AbuDhabi nga bamuyisa Busia baabo Nairobi nga bamukakasizza omulimu
Kati omusango guno gwakuwulirwa nga 22 omwezi guno.
Omusango guno gujjidde mu kaseera ka bazadde b’abawala abasoba mu 100 bakaaba kufuna baana baabwe abagenda mu ngeri yeemu mu ggwanga lya Kuwait kyokka nga kati baggalirwa eyo.