Skip to content Skip to footer

Owa Mbabazi alombozze ebizibu

Omuvubuka Vicent Kaggwa eyakwatibwa abasirikale ba poliisi okuva mu kitongole kya Flying Squad,kubigambibwa nti atetera n’eyali Ssaminisita John Patrick Amama Mbabazi anyonyodde ebyamutuukako.

Kaggwa gwetusanze mu maka ge mu Katanga agambye nti yakwatibwa natwalibwa ku poliisi ya CPS, weyamala eddakiika 30 oluvanyuma nasibibwa  ekikokolo ku maaso n’azunzibwa ku poliisi ez’enjawulo.

Kaggwa agambye yatulugunyizibwa nga bamufuuyira amazzi agaamukuba embiriizi

Wabula ono nebane abeegattira mu kisinde kya NRM poor Youth baweze okwongera okuwagira Mbabazi wamu n’okulwanirira obwenkanya mu NRM.

Leave a comment

0.0/5