Skip to content Skip to footer

Buganda Land Board ekendezezza ez’obusenze

Ekitongole kye Buganda Land Board kirangiridde nga bwekisaze ku nsimbi abantu zebalina okusasula okutereeza obusenze bwabwe ku ttaka kya Kabaka mu disitulikiti ya Kampala ne Wakiso.

Akulira ekitongole kino ow’ekitibwa Kyewalabye Male agambye nti ensimbi zino zivudde ku kakadde 1 ne Mitwalo 20 okutuuka ku mitwalo 60.

Kiwalabye Male agambye nti kino kikoleddwa okusobozesa abantu bamufuna mpola mu Kampala ne Wakiso, naye ng’abalina ettaka okusobola okutereeza obusenze bwabwe.

Wabula Male agambye nti kino kigenda kumala emyezi 2 gyoka era oluvanyuma ensimbi zino zakuddayo.

Leave a comment

0.0/5