Skip to content Skip to footer

Aba ADF balonze omukulembeze omuggya

Oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa Ssabayeekera Jamil Mukulu, abayekera ba ADF bazzeemu okwekunganya era nga bafunye n’omukulembeze omuggya.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bano kati bakulemberwa Musa Baluku ng’amyukibwa Hood Lukwago.

Enanga agambye nti abayekera bano bazzeemu okukuba enkambi mu bibira bye Kivu ate ng’abalala bakolera mu ssaza erimanyiddwa nga Oriental.

Wabula Enanga agambye nti  amaggye ga Uganda ne Congo gamaze okuyiibwa ku nsalo ya Congo ne Uganda okulwanyisa abalabe bano.

Leave a comment

0.0/5