
Abajaasi b’amaggye ga Afghanistan 8 battiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa enyonyi z’eggwanga lya Amerika mu ssaza lye Loga mu kibuga Kabul.
Ab’obuyinja mu ggwanga lino bagamba enyonyi zino zikubye abajaasi baabwe emisana ttuku nga ensi yonna eraba awatali nsonga yonna.
Ekitundu kye Logar kizze kirumbibwa abatalibaani nga n’abasinga ku batuuze baakiddukamu dda.
Gavumenti ya Amerika etegeezezza nga bw’egenda okunonyereza ku nsonga eno.