Amawulire
Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza
Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise
Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw’ekikomera.
Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka
Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi ategeezezza nga muganda we bweyamutegeeza nga mukyala we bweyali amwettidde ate mu maka gaabwe mu bugenderevu era nga bino byebigambo byeyasemba okubategeeza nga tannakutuka.
Omusajja ono agambye nti muganda waabwe bamukoona nnyo kubanga teyaliiko na kutu ate nga n’embiriizi ze zaali zibetentuse ekiraga nti eyamukoona yakikozesa omutima gumu era ng’akigenderedde
Okusinziira ku musawo wa poliisi Moses Byaruhanga eyekebejja omulambo gwa Nsenga, omugenzi yali amenyesemenyese amagumba nga n’okutu okumu kwaali kuvuddeko.
Abajulizi bataano beebakaleetebwa mu kkooti enkulu ng’omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi Duncan Gaswaga