Amawanga agatali gamu gasabiddwa okuvaayo okutaasa embeera eri mu ggwanga lya Burundi ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.
Abantu babiri beebakafiira mu bulumbaganyi buno obuvumirira eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategeezezza nti kano ke kaseera ebibiina nga Africa Union,kkooti y’ensi yonna n’ekibiina ky’amawanga amagate okuyambako okuyimiriza ab’ebyokwerinda abakozesa eryaanyi ku beekalakaasi
Kikonyogo kyokka asabye Nkurunziza okulabira ku munne owa Tanzania ave mu ntebe