Ab’e kitongole kya KCCA abakola ku by’obulamu bagadde ekifo by’eby’emmere mu supamaketi ya Shoprite.
Ekifo kino kigaddwa oluvanyuma lw’abalondoola ebyobulamu mu KCCA okusanga ng’ekifo kino kijama nga tewasaana kuva kyakulya kiriibwa bantu.
Omwogezi wa KCCA Peter Kauju agamba bazze balabula abatwala ekifo kino okutereeza obuyonjo ku nsonga eno awatali kukyuusamu.
Kauju agamba bano bakubaggala okutuusa nga batuukirizza obukwakulizo ku buyonjo obwetaagisa.