Bya Barbra Nalweyiso
Poliisi mu district ye Kassanda etandise okunonyereza kungeri, omuyimbi amanyiddwa nga Gravity Omutujju gyakubiddwamu amasasai, wali mu bitundu bye Bukuya.
Bino bibadde ku ssundiro lyamafuta erya, as LK fuelling station Bukuya, omukuumi bwanawuse namutunuzaamu omugemera wala.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala, Nobert Ochom kati akaksizza nti omukuumi ategerekese nga Amos Muhebwa bwakwatiddwa, ayembeko mu kunonyereza.
Omukwate mukuumi wansi wabazirwanako aba 1980 Kabalega war veterans association, nga kati akaumibwa ku CPS e Kassanda.
Ochom wabula agambye nti nabo tebanategeera kibaddewo ekiviriddeko ono okukuba omuyimbi, Gravity amasasi.
Omutujju kati kitegezeddwa nti aleteddwa mu ddwaliro e Lubaga mu kampala, gyajanjabirwa.
