Skip to content Skip to footer

Omwana afiridde mu muliro e Nakasongola

Bya Ivan Ssenabulya

Poliis mu district ye Nakasongola etandise okunonyereza ku kiviriddeko omuliro ogukutte ekisulo kyabayizi abawala ku somero lya St. Jude P/S mu town council ye Kakooge.

Okusinziita ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah, Paul Kangavve, akaksizza nti omwana owemyaka 6 afiridde mu muliro guno, atenga abalal basobodde okusimatuka nebiwundu.

Ekisulo kino kibadde kusiza abayizi 210.

Poliisi egamba nti batebereza nti omuliro guvudde ku ttaala, eyomukono, ebadde eyaka mu kiro.

Omulambo gwomuyizi gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro lya Francisca H/C 4 e Kakooge, okwekebejjebwa.

Leave a comment

0.0/5