Bya Ivan Ssenabulya
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga agenda kwogerako eri Obuganda, ngasubirwa okulaga obwakabaka w’eyimiridde mu mirimu egyenjawulo na biki ebiri mu ntekateeka mu biseera ebijja.
Kino kigenda kuberawo ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku lunnaku lwanga 12 May, okuva Empologoma lweyasiima mu mwaka gwa 2013, namulonda nga Katikkiro wa Buganda okudda mu bigere byowekitiibwa Eng John Baptist Walusimbi.
Mayiga yakwasibwa ddamula, mu butongole nga 29 May mu mwaka gwa 2013, ku Wankaaki w’Olubiri e Mmengo.
Mu nsonga eziri ku mwanjo, zasubirwa okwogerako kuliko;
- Ebyaffe, Buganda by’ebbanja gavumenti ey’awakati
- Omulimu gw’Amasiro wegutuuse
- Ekirwadde kya COVID-19 n’engeri gyekikosezza Obwakabaka
- Enkozesa yomutimbagano mu bavubuka
- Amateeka amaggya n’omusolo ogwaleteddwa gavumenti
- Ettemu n’okutulugunya naddala abavubuka ba Buganda nensonga endala.
Okwogera kuno kujjidde mu kaseera nga Buganda erimu omuyaga olwembeera yobulamu bwomutanda, eyasemba okulabikako nga tali mu mbeera nnungi.
Wabula Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, yasiima okwogerako eri Obuganda nga 29 May ku nkomerero yomwezi guno.