Bya Ivan Ssenabulya
Abasawo abakyayiga, wansi wekibiina ekibagatta Federation for Uganda Medical Interns balangirirdde akediimo kaabwe nga bagenda kuteeka wansi ebikola okutandika ne nnaku z’omwezi, 17 May 2021, nga babanja gavumenti okubongeza omusaala.
Bano ekybabagudde kwekuba nti gavumenti enyongeza yaabwe teyajitadde mu mabalirrra eyomwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22.
Pulezidenti wekibiina kino Dr Nabushawo Faith ajjukizza gavumenti ku kwemulugunya kwebatwala ewomukubiriza wa palamenti nga 30 mu Sebutemba wa 2019, ngoluvanyuma akaiiko ka palamenti kakaola okuwabula okwenjawulo ku nsonga eno.
Akakiiko mu alipoota yaabwe bawabula gavumenti eyongeze abasawo ku mutendera gwa Intern doctor okutuuka ku bukadde 3/- neba nurse abakyayiga oktuuka ku bukadde 2 nemitwalo 20, awatali kusalibwako.
Wabula bano bagamba nti gabawedde, kubanga ku nsonga zino zonna, ezajira mu alipoota tewali kyebateeka mu nkola.
Kati mu lukiiko olwatudde nga 9 May 2021, bakanyizza bateeke wansi ebikola okutuusa nga sente zaabwe zitekeddwa mu mbalirira.
Ekibiina kino kyegatiramu ba intern doctors, ba nurse, ba dentist oba abasoma okukula amannyo neba pharmacist abakola mubye ddagala.