Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alagidde Ministry yebyentambula, bayimiriz entekateeka zaabwe okwewola ssnete, ezokukola oluguudo lwa Kampala-Jinja Expressway.
Uganda National Roads Authority yabadde emaze okwetegereza kamapuni ezenjawulo nebisanyizo, abo abegwanyiza okuweebwa omulimu guno, okukola oluguudo olugenda okuva e Kampal okudda e Jinja olwa kilo mita 95.
Oluguudo luno lusubirwa okuwememnta akawumbi ka $ 1 nga bwebwesedde bwa silingi za Uganda 3 nobuwumbi 4.
Wabula mu bbaluwa omukulembeze we gwanga gyyawandiise nga 18 September eri minister webyentambula Eng. Monica Ntege Azuba, Museveni yagambye nti tebagenda kuddamu kwewolera nguudo okuva mu mawanga ge bweru, okujjako mubyamasanyalaze, okuzimba oluguudo lwe gaali yomukka, nemu kukola enguudo zekuusa ku polojekiti zamafuta nebyobulambuzi.
Ategezezza nga era bwebalina enkolagana ne kampuni yaba-China eya China Railway 17th Bureau Group, okukola oluguudo luno ku bwerere, oluvanyuma balusolooze bazze ssente zaabwe.
Bino webijidde ngababaka mu palamenti baakajja bemulugunye, kungeri okutandika okukol oluguudo luno gyekuluddewo.