Bya Prossy Kisakye, ne Ivan Ssenabulya, Aba Dmocratic Party Bloc bakungubagidde eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’ekibiina ekivuganya Gavumenti ekya Uganda People’s Congress Joseph Bbosa eyafiiridde mu ggwanga lya Netherlands.
Omugenzi wafiiridde nga aweza egy’obukulu 70.
Bbosa era y’e Mwami w’omulamuzi Solome Balungi Bbosa ali mu Kkooti yensi yonna ewozesa egyannagomola.
Mu kwogerako eri bannamawuliire ku kitebe ky’ekibiina kya Dp mu Kampala Mike Mabike ategeezezza ng’omugenzi Bbosa bwabadde empagi luwaga eri oludda oluwabula gavumenti mu lutalo olwokununula eggwanga
Ono ategeezza nga bwe bafiiridwa empagi luwagga mu kiseera nga betaaga abawi b’amagezi okusobola okutukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okuwagula obukulembezze mu kalalu ka bonna akasuubirwa okubaawo omwaka 2021.
Ku nsonga yemu ne ssekamwa w’ekibiina kya, UPC Michael Osinde ayogedde kumugenzi nga abadde omukulermbezze ow’amaanyi nga balindiidde.
Joseph Bosa yali ku kitenbe ky’ekibiina mu bukulembezze bwa Olara Otunu, okutuukira ddala mu mwaka gwa 2015 bwe beyuzaamu oluvanyuma lw’okulumiriza Jimmy Akena okubeera n’enkolagaana n’ekibiina kya NRM.