Skip to content Skip to footer

Abawakanya Nawangwe e Makerere beyongedde

Bya Damalie Mukhaye

Abantu abnjawulo bambalidde omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere olwokugoba abayizi 10 abawakanya okkwongeza kwebisale 15% ababadde, nga bayita ku mikutu muyunga bantu.

Prof Nawangwe yasooka nagoba abayizi 5, olwokuwakanya enkola eyayisibwa olukiiko olwa University Council, ate oluvanyuma ngoba nabalala 6 abaliko byebawandiiko ku mikutu muyunga bantu, nga bawakanya ebisale ebyayongezebwa.

Kati okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa kansala wabakyala owe Makerere Doreen Nyanjura, bwebaba tebagala bayizi okulaga obutali bumativu bwabwe, abe Makerere bagwana bawere amasomo agakwata ku ddembe lyobuntu, ebyobukulembeze, amateeka nebiralala.

Olukiiko oluddukanya ettendekero olwa university council kinajjukirwa nti mu July womaka guno lwayisa enyongeza yebisale, ya 15% bangi kyebawakanyizza wademnga ate abamu ku bakulembeze ababayizi bakiwagira.

Leave a comment

0.0/5