Bya Ivan Ssenabulya
Abavubi ku mwalo gwe Ssenyi mu gombolola ye Ssi-Bukunja mu district ye Buikwe bakubye omulanga, oluvanyuma lwemyala egyitwala amazzi okuzibikira naddala enkuba buli lwetonnya.
Kino bagamba nti kibaviriddeko okutataganya mu nkola yemirimu gyabwe.
Kati nga bakulembeddwamu ssentebbe womwalo guno, Ronnie Sendagire bawanjagidde gavumenti okubaddukilira, nga abategezezza nti basolozaamu emisolo mingi ate nebatabafaako.
Wabula Ssentebbe wa district ye Buikwe Mathias Kigongo agambye nti kino kivudde kubatuuze okuzimba mu biffo ebukyamu, amazzi negatuuka okubulwa wegalaga.