Skip to content Skip to footer

Omukazi afiiridde mu kirombe e Mukono

Bya Ivan Ssenabulya,

Ettaka libutikidde abantu mu kirombe ky’amayinja ekya Bwefulumya-Kisoga mu ggombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono.

Kiteberezebwa nti mubaddemu omuntu omu, ngabadde wansi ng’alya mmere

Omugenzi ye Viola Nakato owemyaka 25 ng’abadde mutuuze ku kyalo kye Namawojjolo mu gombolola ye Nama era abade yakatandika okukolera mu kirombe kino emyezi 4 emabega.

Rose Mbabazi nga naye abadde mu kinnya wabula nasimattuka, atunyonyodde.

Sound: Mbabazi Asimattuse

Atwala eby’okwerinda mu kitundu kino William Bwire akitadde ku bantu abakolera mu kirombe, okuleka ettaka waggulu ku kalebwelebwe.

Poliisi ye Mbalala-Mukono, ejjeewo omulambo nebagutwala mu gwanika ly’edwaliro e Kawolo.

Leave a comment

0.0/5