Omukazi agambibwa okusobya ku mwana omulenzi ow’emyaka ettaano gyokka wakuvundira Luzira.
Kino kiddiridde omukyala ono okuddizibwa e Luzira Oluvanyuma lw’omuwaabi wa gavumenti Pamela Orogot okutegeeza omulamuzi w’edaala erisooka ku City Hall Moses Nabende nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.
Christina Nakato ng’ali ku alimanda e Luzira omusango yaguddiza walufumbe zone e Kyanja mu Kampala ng’era omwana ono ayogerwako wa mukama we gye yali ayamba okulabirira ewaka
Omusango yaguzza abazadde b’omwana bombi tebaliwo.
Kkooti emutegeezezza nti poliisi bw’enemaliriza okunonyereza kwaayo ejja kumusindika mu kkooti enkulu awerenembe n’omusango.